Jeremiah 27:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni by'ataatwala lwe yawaŋŋangusa Yekoniya mutabani wa Yoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu bonna aba Yuda n'ab'e Yeruzaalemu n'abatwala e Babiloni ng'abaggya mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni by'ataatwala bwe yatwala mu buwaŋŋanguse Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babbulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooni bwe yatwala e Babilooni mu busibe kabaka wa Buyudaaya Yekoniya mutabani wa Yehoyakiimu n'abakungu bonna ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni by'ataatwala bwe yatwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi