Jeremiah 27:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba ku bintu ebyalekebwa awo mu nnyumba y'Omukama, mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yeruzaalemu nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ku bikwata ku bintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Muwulire ebyo Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, bye ŋŋamba, ebifa ku bintu ebyasigala mu Ssinzizo ne mu lubiri lwa kabaka e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, eby'ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti