Jeremiah 27:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo weereza obubaka eri kabaka w'e Edomu, kabaka w'e Mowabu, kabaka w'Abammoni, kabaka w'e Tiiro ne kabaka w'e Sidoni ng'obuyisa mu babaka abazze eri Zedekiya kabaka wa Yuda mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ng’otuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oweereze ekigambo eri kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemi okulaba Zeddekiya kabaka wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oweereze obubaka eri bakabaka: ow'e Edomu, n'ow'e Mowaabu, n'ow'e Ammoni, n'ow'e Tiiro, n'ow'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemu okulaba Kabaka Zeddeekiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obiweereze kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni mu mukono gw'ababaka abajja e Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda;