Jeremiah 27:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nakola ensi n'abantu baayo n'ebisolo ebiriko n'omukono gwange omugolole, n'omukono gwange ogw'amaanyi, era ngiwa oyo gwe mba njagadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amaanyi gange amangi n’omukono ogugoloddwa natonda ensi n’abantu baamu n’ensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze olw'obuyinza bwange obungi, n'omukono ogugoloddwa, nnakola ensi, n'abantu, n'ensolo ebiri ku nsi; era ngiwa oyo gwe nsiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Olw'obuyinza bwange obungi, n'amaanyi gange, Nze natonda ensi erimu abantu n'ensolo, era ngiwa oyo gwe nsiima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze nakola ensi, omuntu n'ensolo ebiri ku nsi, n'obuyinza bwange obungi n'omukono gwange ogugoloddwa; era nze ngiwa gwe nsiima.