Jeremiah 27:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaakano nno mpadde ensi ezo zonna mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni, omuweereza wange; n'ebisolo eby'ettale mbimuwadde bimuweereze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano ensi zino zonna nziwadde Kabaka Nebukadduneeza, kabaka w'e Babbulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo zonna ez'omu nsiko okumuweerezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano ensi zino zonna nziwadde omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya okuzifuga. Era mmuwadde n'ensolo ez'omu ttale okumuweereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano mpadde ensi zino zonna mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweerezanga.