Jeremiah 27:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gonna galimuweereza, ye, mutabani we ne muzzukulu we, okutuusa ate obudde bw'abantu be lwe bulituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka ab'obuyinza balimufuula muweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nnategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu ne balyoka naye bamufuula omuddu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga gonna galimuweereza, ye ne mutabani we, n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we okutuusa ebiro eby'ensi ye lwe birituuka: kale amawanga mangi ne bakabaka abakulu ne balyoka bamufuula omuddu.