Jeremiah 27:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggwanga oba obwakabaka ebitaligondera Nebukadunezzari, kabaka w'e Babiloni, ensingo yaabwe ne batagikutamiza kikoligo kya kabaka w'e Babiloni, eggwanga eryo ndiribonereza n'ekitala n'enjala ko ne kawumpuli okutuusa lwe ndibawaayo mu mikono gye, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ “Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babbulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Ab'eggwanga oba obwakabaka abaligaana okuweereza kabaka oyo Nebukadunezzari owa Babilooniya, n'okugondera obuyinza bwe, ndibabonereza n'olutalo n'enjala n'endwadde, okutuusa lwe ndireka Nebukadunezzari okubusaanyizaawo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe.