Jeremiah 27:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe nno temuwuliriza balanzi bammwe, balaguzi, baloosi ba birooto, mmandwa na balogo bammwe abagenda bagamba nti: “Temugenda kufugibwa kabaka wa Babiloni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe temuwulirizanga bannabbi bammwe, newakubadde abafumu bammwe, newakubadde abaloosi, abalaguzi, oba abasamize bammwe ababagamba nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale temuwuliriza balanzi bammwe n'abalaguzi bammwe, wadde omulala yenna agamba nti ayinza okulanga ebirijja, ng'avvuunula ebirooto oba nga yeebuuza ku mizimu oba ng'akozesa eby'amalogo. Abo bonna babagamba nti temuliweereza kabaka wa Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe temuwuliranga bannabbi bammwe newakubadde abafumu bammwe newakubadde ebirooto byammwe newakubadde abalogo bammwe newakubadde abasamize bammwe ababagamba nti Temuliweereza kabaka w'e Babulooni: