Jeremiah 28:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwo gwennyini, mu masooka g'obwakabaka bwa Zedekiya kabaka wa Yuda, mu mwaka ogwokuna, mu mwezi ogwokutaano, omulanzi Ananiya, mutabani wa Azzuri, ow'e Gibewoni, yagamba Yeremiya mu Kiggwa ky'Omukama, mu maaso ga bakabona n'abantu bonna nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwo gwennyini, ku ntandikwa y'obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'okutaano ogw'omwaka ogwokuna, Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nga agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwo gwennyini, mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogwokuna nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Ananiya mutabani wa Azzuri era omulanzi ow'e Gibiyoni, n'ayogera nange mu Ssinzizo, bakabona n'abantu bonna nga weebali. N'aŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga mu mwaka ogw'okuna mu mwezi ogw'okutaano Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nti