Jeremiah 28:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ananiya n'ayogera mu maaso g'abantu bonna nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Bwe ndimenya bwe ntyo nga wayise emyaka ebiri ekikoligo kya Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni ne nkyambula mu bulago bw'amawanga gonna.’ ” Awo Yeremiya omulanzi n'akwata agage n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’ ” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako.” Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayogera ng'abantu bonna weebali, n'agamba nti: “Mukama agamba nti bw'ati bw'alimenya ekikoligo, Kabaka Nebukadunezzari ky'atadde mu bulago bw'amawanga gonna. Era ekyo ajja kukikola mu bbanga lya myaka ebiri.” Olwo nze ne nvaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako. Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo.