Jeremiah 28:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma nga Ananiya omulanzi amaze okumenya ekikoligo n'akyambula mu bulago bwa Yeremiya omulanzi, ekigambo ky'Omukama kyajja eri Yeremiya nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera bw'ekyayitawo nga nnabbi Kananiya amaze okumenya emiti gy'ekikoligo okuva mu nsingo ya nnabbi Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ekiseera, Mukama n'aŋŋamba
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, Kananiya nnabbi ng'amaze okumenya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya, nga kyogera