Jeremiah 28:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: Nzija kwambika ekikoligo ky'ekyuma ku nsingo z'amawanga gano gonna, gaweereze Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni. Kwo okumuweereza mugenda kumuweereza, n'ebisolo eby'ettale mbitadde mu buyinza bwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Ntadde ekikoligo eky'ebyuma mu nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era balimuweereza, era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweereza.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti aliteeka ekikoligo eky'ekyuma mu bulago bw'amawanga gano gonna, gaweerezenga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni. Mukama agamba nti n'ebisolo eby'omu ttale, nabyo biriweereza Nebukadunezzari.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ntadde ekikoligo eky'ebyuma ku nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni; era balimuweereza: era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko.