Jeremiah 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya omulanzi n'alyoka agamba Ananiya omulanzi nti: “Ananiya, wulira bulungi: Omukama takutumanga, ate ggwe n'okkirizisa abantu bano eby'obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba nnabbi Kananiya nti, “Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ntegeeza Ananiya ebigambo ebyo, era ne mugamba nti: “Wulira ggwe Ananiya! Mukama takutumanga, n'oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba Kananiya nnabi nti Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye weesiza abantu bano eky'obulimba.