Jeremiah 28:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kyava agamba nti: ‘ŋŋenda kukuggya ku nsi; ojja kufa mu mwaka guno, kubanga by'oyogedde bireeta okujeemera Omukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, nja kukuggya mu nsi, mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno Mukama yennyini agamba nti ajja kukuggya ku nsi. Ojja kufa ng'omwaka guno tegunnaggwaako, kubanga oyogedde ebiwakanya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera nti Laba, ndikusindika okuva ku nsi: mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.