Jeremiah 28:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga lya myaka ebiri nzija kuzza mu kifo kino ebibya byonna eby'omu Kiggwa ky'Omukama, Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu bbanga lya myaka ebiri, ndikomyawo nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bbanga lya myaka ebiri, nja kukomyawo mu kifo kino ebintu byonna eby'Essinzizo, Kabaka Nebukadunezzari bye yaggyamu n'abitwala e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako ndireeta nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babulooni: