Jeremiah 28:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikomyawo mu kifo kino ne Yekoniya mutabani wa Yoyakimu kabaka wa Yuda n'abasibe bonna aba Yuda abaagenda e Babiloni,’ Omukama y'agamba, ‘kuba nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w'e Babiloni.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abantu bonna abawaŋŋanguka okuva mu Yuda abaagenda e Babbulooni, bw'ayogera Mukama, kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nja kukomyawo kabaka wa Buyudaaya, Yekoniya mutabani wa Yehoyakiimu, awamu n'abantu bonna ab'omu Buyudaaya, abaatwalibwa mu Babilooni nga basibe. Nja kumenyawo obuyinza bwa kabaka wa Babilooni. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abasibe bonna aba Yuda abaagenda e Babulooni, bw'ayogera Mukama: kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.