Jeremiah 28:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya omulanzi n'ayanukula Ananiya omulanzi mu maaso ga bakabona n'abantu bonna abaali bayimiridde mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, n’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi Yeremiya n'ayogera ne nnabbi Kananiya, mu maaso ga bakabona, n'abantu bonna abaali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona n'abantu bonna nga weebali, ne ŋŋamba omulanzi Ananiya nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnabbi Yeremiya n'agamba nnabbi Kananiya, bakabona nga weebali n'abantu bonna abayimiridde mu nnyumba ya Mukama nga weebali,