Jeremiah 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya omulanzi n'agamba nti: “Amiina, Omukama akole bw'atyo! Atuukirize ebigambo by'ova okulanga, akomyewo mu kifo kino okuva e Babiloni ebibya by'omu Kiggwa ky'Omukama n'abawaŋŋangusibwa bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Amiina! Bw’atyo Mukama bw’aba akola! Mukama atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nnabbi Yeremiya n'ayogera nti, “Amiina! Mukama akole bw'atyo; Mukama atuukirize ebigambo byo byonna by'olagudde okukomyawo mu kifo kino okuva e Babbulooni, ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna abatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Weewaawo. Ka tusuubire nti Mukama anaakola bw'atyo, era nti anaatuukiriza by'olagudde, n'akomyawo okuva e Babilooni ebintu by'Essinzizo n'abantu bonna abaatwalibwayo okusibirwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nnabbi Yeremiya n'ayogera nti Amina: Mukama akole bw'atyo: Mukama atuukirize ebigambo byo by'olagudde okukomyawo ebintu by'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna ab'obusibe okubaggya e Babulooni okubaleeta mu kifo kino.