Jeremiah 28:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Abalanzi abaatusooka, okuva edda, baalanganga ku nsi nnyingi n'obwakabaka bungi entalo, enjala ne kawumpuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannabbi abansooka nze era n'abaakusooka ggwe edda baalagulanga, entalo, enjala ne kawumpuli eby'okujjira ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi abaatusooka ggwe nange, baalanga entalo n'enjala n'endwadde eby'okujjira amawanga amangi n'obwakabaka obw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannabbi abansooka nze era abaakusooka ggwe edda baalagulanga eri ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka amakulu, nga balagula obulwa n'obubi ne kawumpuli.