Jeremiah 28:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka omulanzi alanga emirembe, ekigambo kye bwe kiraka, kw'ategeererwa ng'Omukama mu mazima ye yamutuma.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale kirimanyibwa nga ddala Mukama, yaatumye nnabbi oyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omulanzi alanga emirembe, akakasibwa nti ddala mulanzi eyatumibwa Mukama, nga ky'alanze kimaze kutuukirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale nnabbi alimanyibwa nga Mukama yamutuma mazima.