Jeremiah 29:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bigambo by'ebbaluwa Yeremiya omulanzi gye yaweereza okuva e Yeruzaalemu eri abaali bakyawonyeewo mu bakadde abaali mu buwaŋŋanguse, n'eri bakabona, abalanzi n'abantu abalala bonna Nebukadunezzari be yali aggye e Yeruzaalemu n'abatwala e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bino bye bigambo eby'omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng'asinziira e Yerusaalemi eri abakadde, babo abali mu buwaŋŋanguse, n'eri bakabona, ne bannabbi, n'abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi okugenda e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eno ye bbaluwa gye nawandiikira bakabona n'abalanzi n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abalala bonna Nebukadunezzari be yaggya e Yerusaalemu, n'abatwala e Babilooni mu busibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bino bye bigambo eby'omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng'ayima e Yerusaalemi eri abakadde abafisseewo ab'omu busibe n'eri bakabona n'eri bannabbi n'eri abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte nga basibe okubaggya e Yerusaalemi okubatwala e Babulooni: