Jeremiah 29:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama kino ky'agamba: Emyaka ensanvu bwe girimala okujjula ku lwa Babiloni, ndibalambula, ne ntuukiriza ekisuubizo kyange ekirungi eky'okubakomyawo wano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Emyaka nsanvu (70) gye nawa Babbulooni bwe giriggwaako, ndibakyalira, era ndituukiriza ekisuubizo kyange, ne mbakomyawo mu kifo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Emyaka nsanvu gye nawa Babilooni bwe giriggwaako, ne ndyoka ndaga bwe mbalumirwa mmwe era ne ntuukiriza kye nabasuubiza eky'okubakomyawo ku butaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Emyaka nsanvu bwe girituukiririra Babulooni, ndibajjira ne ntuukiriza gye muli ekigambo kyange ekirungi nga mbakomyawo mu kifo kino.