Jeremiah 29:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti nze mmanyi ebirowoozo bye mbalinako, Omukama bw'agamba: birowoozo bya ddembe, si bya kubabonyaabonya, bya kubawa bulamu na ssuubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa eby'omu maaso ne suubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi bulungi bye mbategekedde mmwe. Bye mbategekedde si bya kabi, naye bya mirembe, egirimu okusuubira ebirungi gye bujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey'oluvannyuma.