Jeremiah 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munannoonyanga ne munsanga, bwe muliba munnoonyezza n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulinnoonya ne mundaba, kubanga mulinnoonya n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna.