Jeremiah 29:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulinsanga, Omukama bw'agamba, nange ndibaggya mu busibe bwammwe; ndibakuŋŋaanyaayo eyo yonna mu mawanga, ne mu bifo byonna gye nabagobera, Omukama y'agamba, ne mbakomyawo mu kifo kino mwe nabaggya okubawaŋŋangusa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndizaawo emikisa gyammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, era ndibakomyawo mu nsi mwe nnabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala mulindaba, era ndibaggya mu busibe. Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nabaasaanyiza, ne mbakomyawo mu nsi mwe nabaggya okubatwala mu busibe. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndikyusa nate obusibe bwammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, bw'ayogera Mukama; era ndibakomyawo mu kifo gye nnabaggya okubatwaza okuba abasibe.