Jeremiah 29:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama kino ky'agamba kabaka atudde ku nnamulondo ya Dawudi n'abantu bonna abasula mu kibuga kino, baganda bammwe be mutaagenda nabo mu buwaŋŋanguse:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kino Mukama ky’agamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi n’abantu bonna abaasigala mu kibuga kino, n’abantu ab’ensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku kabaka atuula ku nnamulondo ya Dawudi, era n'ebikwata ku bantu bonna abali mu kibuga kino, baganda bammwe, abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire ekyo Mukama ky'agamba ku kabaka afuga obwakabaka bwa Dawudi, ne ku baganda bammwe, abataatwalibwa wamu nammwe mu busibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebya kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi, n'eby'abantu bonna abali mu kibuga muno, baganda bammwe abatafulumanga okugenda mu busibe wamu nammwe;