Jeremiah 29:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nzija kubasindikira ekitala, enjala ne kawumpuli; nzija kubafaananya ng'entontogolo z'emikunyu embi, embi ennyo ezitasobola na kuliika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bwayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Ndisindika ekitala, n’enjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ng’emitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olw’obubi bwagyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, ndisindika ku bo ekitala, n'enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng'ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Ndisindika mu bo olutalo n'enjala n'endwadde, era ndibafuula ng'emitiini emivundu, egitakyayinza kuliibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndisindika ku bo ekitala n'enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng'ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi