Jeremiah 29:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubawondera n'ekitala, enjala ne kawumpuli. Ndibafuula abantu abeesisiwaza eri buli bwakabaka bwonna obw'ensi, ekikolimo, eky'entiisa, ekinyoomebwa n'okuvuma mu mawanga gonna gye nabagobera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibayigganya n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, era okuba ekikolimo, eky'entiisa, n'okusoozebwanga n'ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibayigganya n'olutalo, n'enjala, n'endwadde, era amawanga gonna galyesisiwala okulaba ekyo. Buli gye ndibasaasaanyiza, abantu balitya era balyekanga olw'ebyo ebibatuuseeko. Balibasekerera, era balikozesa erinnya lyabwe mu kukolima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibayigganya n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, okuba ekikolimo n'ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera: