Jeremiah 29:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tebaawuliriza bigambo byange, Omukama y'agamba, ebyo bye nabatuusangako buli olukedde nga mbiyisa mu baweereza bange abalanzi; naye era temwawulira, Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera Mukama, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga tebawulirizza bigambo byange, bye n'atuma abaddu bange bannabbi, be nnabaweerezanga obutayosa; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw'ayogera Mukama.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo biribatuukako, kubanga tebaawuliriza bubaka bwange bwe nabaweerezanga awatali kwosa, nga mbuyisa ku baweereza bange abalanzi, naye bo ne batakkiriza kuwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tebawulirizza bigambo byange, bw'ayogera Mukama, bye nnatuma abaddu bange bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw'ayogera Mukama.