Jeremiah 29:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kyaliwo nga kabaka Yekoniya, nnamasole, abakungu, abakulembeze ba Yuda ne Yeruzaalemu, abafundi n'abaweesi bamaze okuva mu Yeruzaalemu okugenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kyaliwo oluvannyuma lwa kabaka Yekoniya, ne nnamasole n'abalaawe n'abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n'abaweesi okuggyibwa mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nagiwandiika nga Kabaka Yekoniya, ne nnyina, n'abakungu b'omu lubiri, n'abakulembeze b'omu Buyudaaya ne Yerusaalemu, n'abafundi n'abaweesi, bamaze okuggyibwa e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Yekoniya kabaka ne nnamasole n'abalaawe n'abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n'abaweesi nga bamaze okuva mu Yerusaalemi;)