Jeremiah 29:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mwenna be nawaŋŋangusa okuva mu Yeruzaalemu, ne mbaweereza e Babiloni, muwulire ekigambo ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abaagenda mu buwaŋŋanguse, be nnasindika e Babbulooni okuva e Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe mwenna be naggya e Yerusaalemu ne mbasindika e Babilooni mu buwaŋŋanguse, muwulire ebyo Nze Mukama bye ŋŋamba.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna ab'omu busibe, be nnasindika e Babulooni okuva e Yerusaalemi.