Jeremiah 29:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku Akabu mutabani wa Kolaaya, ne ku Zedekiya mutabani wa Maaseeya, abalanga gye muli eby'obulimba mu linnya lyange: Nzija kubawaayo mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, abatte nga nammwe mulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri ebikwata ku Akabu mutabani wa Kolaya n'ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya abalagula eby'obulimba mu linnya lyange nti, Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era alibatta nga mulaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ayogedde ku Akabu, mutabani wa Kalaya ne ku Zeddeekiya mutabani wa Maaseya, ababategeeza eby'obulimba nga bajuliza erinnya lye. Agambye nti alibawaayo mu mikono gya Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'abatta nga mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri ebya Akabu mutabani wa Kolaya n'ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya ababalagulira mu linnya lyange eky'obulimba, nti Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni; era alibatta mmwe nga mulaba;