Jeremiah 29:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera bo, abasibe bonna aba Yuda abali e Babiloni, banaagambanga bwe banaabanga bavumirira nti: “Omukama akufuule nga Zedekiya ne Akabu kabaka w'e Babiloni be yayokya mu muliro!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’abasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘ Mukama akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka w’e Babulooni be yayokya mu muliro.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ku lwabwe ekikolimo kino kinaakozesebwanga abo bonna abali mu buwaŋŋanguse abaava mu Yuda abali e Babbulooni nti, “ Mukama akufuule nga Zeddekiya ne Akabu kabaka w'e Babbulooni be yayokya omuliro,”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abasibe bonna abaava mu Buyudaaya abali e Babilooni, bwe banaabangako gwe bakolimira, banaagambanga nti: “Mukama akufuule nga Zeddeekiya ne Akabu, kabaka wa Babilooni be yayokya omuliro!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ku bo kwe baliggya ekikolimo abasibe bonna aba Yuda abali mu Babulooni nga boogera nti Mukama akufuule nga Zeddekiya era nga Akabu kabaka w'e Babulooni be yayokya omuliro: