Jeremiah 29:25 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Kubanga waweereza mu linnya lyo ebbaluwa eri abantu bonna abali mu Yeruzaalemu, n'eri Zefaniya mutabani wa Maaseeya kabona, n'eri bakabona bonna, ng'egamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa mu linnya lyo ggwe, eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n'eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n'eri bakabona bonna ng'oyogera nti,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'agamba Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa ng'oyima mu linnya lyo ggwe eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n'eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n'eri bakabona bonna ng'oyogera nti