Jeremiah 29:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama yakufuula kabona mu kifo kya Yoyada, obeere omukulu w'Omukama. Buli yenna eyeerogozza n'alanga, omusibe mu nvuba ne mu kikoligo.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘ Mukama yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya Mukama; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona, obeere omukulu mu nnyumba ya Mukama. Mulimu gwo okulaba nga buli mulalu eyeefuula nnabbi, omuteeka mu nvuba ne mu masamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada, obe mukulu mu Ssinzizo. Mulimu gwo okulaba nga buli mulalu eyeefuula omulanzi ateekebwa mu nvuba asibwe mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona mubeere abaami mu nnyumba ya Mukama, olwa buli muntu aliko eddalu ne yeefuula nnabbi, omuteeke mu nvuba ne mu masamba.