Jeremiah 29:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aweerezza ebbaluwa eno ewaffe e Babiloni ng'agamba nti: ‘Ebbanga likyaliyo. Muzimbe amayumba, mukkalire, musimbe ennimiro, mulye bye zibazizza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ng’agamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yatutumira e Babbulooni ng'ayogera nti, “Obuwaŋŋanguse bwa kulwawo; muzimbenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeremiya oyo, yatutumira mu Babilooni ng'agamba nti: ‘Obusibe bwa kulwawo. Muzimbe amayumba mukkalire, era musimbe ensuku, mulyenga emmere yaamu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yatutumira e Babulooni ng'ayogera nti Obusibe bwa kulwawo: muzimbenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu?