Jeremiah 29:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbaluwa yakwasibwa Eleyasa mutabani wa Safani, ne Gemariya mutabani wa Kilukiya, Zedekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babiloni eri Nebukadunezzari, kabaka w'e Babiloni. Yali esoma bw'eti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bw’eti nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebbaluwa n'agiwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, abo Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babbulooni eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni. Yali egamba bweti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nagikwasa Elasa mutabani wa Safani, era ne Gemariya mutabani wa Yilikiya, Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya be yatuma e Babilooni eri Kabaka Nebukadunezzari. Yali egamba bw'eti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mukono gwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, (Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babulooni eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni,) ng'ayogera nti