Jeremiah 29:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Weereza obubaka buno eri abawaŋŋangusibwa bonna, obagambe nti ‘Omukama kino ky'agamba ku Semaaya ow'e Nekelamu: Kubanga Semaaya yalanga gye muli, sso nga nze simutumanga, n'abakkirizisa eby'obulimba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tumira abo bonna abali mu buwaŋŋanguse e Babbulooni ng'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Semaaya Omunekeramu nti, Kubanga Semaaya abalagudde, so nga nze simutumanga, era n'abaleetera okwesiga eby'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutumira abasibe bonna mu Babilooni obubaka buno obufa ku Semaaya nti: “Nze Mukama, nja kubonereza Semaaya n'ezzadde lye. Nze simutumanga, kyokka n'ayogera gye muli ng'omulanzi, era n'abaleetera okwesiga eby'obulimba. Taliba na muzzukulu we mu mmwe. Era taliwangaala kulaba ku birungi bye ndikolera abantu bange, kubanga yayogera ebibaleetera okunjeemera. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Tumira abo bonna abali mu busibe ng'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama ebya Semaaya Omunekeramu nti Kubanga Semaaya abalagudde, so nze simutumanga, era abeesigisizza eky'obulimba;