Jeremiah 29:32 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale Omukama kino ky'agamba: Nzija kubonereza Semaaya ow'e Nekelamu n'ezzadde lye; talisigaza muntu n'omu mu bantu bano, era taliraba ku birungi bye ndikolera abantu bange, Omukama bw'agamba; kubanga by'ayogedde bya kujeemera Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kino Mukama ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n'ezzadde lye; taliba na musajja aliba omulamu mu bo aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, bw'ayogera Mukama, kubanga ayogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n'ezzadde lye; taliba na musajja wa kutuula mu bantu bano, so taliraba birungi bye ndikola abantu bange, bw'ayogera Mukama: kubanga ayogedde eby'obujeemu eri Mukama.