Jeremiah 29:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba abasibe bonna be naggya mu Yeruzaalemu ne batwalibwa e Babiloni:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri, eri abo bonna abawaŋŋangusibwa be n'asindika mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi okugenda e Babbulooni nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Nnannyinimagye Katonda wa Yisirayeli, abasibe bonna abaggyibwa e Yerusaalemu ne batwalibwa e Babilooni, abagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri bw'agamba ab'obusibe bonna be nnatwaza e Babulooni nga basibe okubaggya e Yerusaalemi, nti