Jeremiah 29:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Muzimbe amayumba; mukkalire; musimbe ennimiro, mulye bye zibazizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Muzimbe amayumba, mukkalire. Musimbe ensuku, mulye emmere yaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala;