Jeremiah 29:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukolerere obulungi bw'ekibuga gye nabawaŋŋangusiza. Mukisabirenga ew'Omukama, kubanga bwe kibeera obulungi, nammwe muliba bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwagalizenga ekibuga emirembe, gye nnabasindika mu buwaŋŋanguse, era mukisabirenga eri Mukama, kubanga olw'emirembe gyakyo nammwe muliba n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukolere obulungi bw'ebibuga gye nabatwala mu busibe. Munsabenga, mbiwenga omukisa, kubanga bwe biriba emirembe, nammwe muliba mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwagalizenga ekibuga emirembe gye nnabatwaza okuba abasibe, era mukisabirenga eri Mukama: kubanga olw'emirembe gyakyo mmwe muliba n'emirembe.