Jeremiah 29:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Temukkiriza balanzi bammwe abali mu mmwe kubawubisa, yadde abalaguzi bammwe; temuwuliriza birooto byammwe bye mubaloosa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n'abasamize bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byabwe bye baloota.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, mbalabula muleme kulimbibwa balanzi abali mu mmwe, wadde abalala bonna, abagamba nti bayinza okulanga ebirijja. Temuwuliriza birooto byabwe bye baloota,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n'abafumu bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byammwe bye muloosa.