Jeremiah 29:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balanga bya bulimba gye muli mu linnya lyange. Nze sibatumanga n'akamu, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga balagulira mu linnya lyange eby'obulimba, so sibatumanga,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bye babalagula, nga bajuliza erinnya lyange, bya bulimba. Nze sibatumanga. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga babalagulira mu linnya lyange eby'obulimba: sibatumanga, bw'ayogera Mukama.