Jeremiah 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omusajja bw'agoba mukazi we, n'omukazi n'amuvaako n'afumbirwa omusajja omulala, aba akyasobola okuddira omukazi? Ensi eyo eba tefaafaaganidde ddala? Naye ggwe akoze obwamalaaya ne baganzi bo enkumu, kati n'odda gye ndi?” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja bw’agoba mukazi we, omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala, omusajja we alimukomyawo nate? Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo? Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi; naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Singa omusajja agoba mukazi we, omukazi naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? Ensi eyo eba teyonoonese nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo abangi; era naye kati onoonzirira nate?” Bwayogera Mukama
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Omusajja bw'agoba mukazi we, omukazi n'agenda n'afumbirwa omusajja omulala, singa omusajja oyo ate addira omukazi oyo, ensi eyo tejjaamu emitawaana? Naye ggwe Yisirayeli weefuula omwenzi, n'oba ne baganzi bo bangi, kyokka oyagala okunzirira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Boogera nti Omusajja bw'agoba mukazi we, naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? ensi yo teryonooneka nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo bangi; era naye nzirira nate, bw'ayogera Mukama.