Jeremiah 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde bwe gutyo bwe gwali, muganda we ataali mwesigwa teyadda gye ndi na mutima gwe gwonna, wabula na bukuusa,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye n'asigala ng'akuusakuusa,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ebyo byonna bimaze okubaawo, Buyudaaya ow'enkwe, muganda wa Yisirayeli, n'atanzirira na mutima gwe gwonna, wabula n'akuusakuusa. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye ng'akuusakuusa, bw'ayogera Mukama.