Jeremiah 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Genda nno olangirire ebigambo bino ng'otunuulidde emambuka, ogambe nti: “ ‘Komawo, Yisirayeli omujeemu,’ Omukama y'agamba, ‘sijja kukutunuuliza maaso manyiivu, kubanga ndi wa kisa.’ Omukama y'agamba. ‘Sijja kusunguwala budde bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti, “ ‘Komawo ggwe Isirayiri, eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama. ‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama; ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiikakkono, oyogere nti, “Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka,” bw'ayogera Mukama. “Siibatunuulire n'obusungu, kubanga nnina okusaasira,” bw'ayogera Mukama, “siriguguba na busungu emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale genda olangirire bino eri Yisirayeli nti: ‘Mukama agamba nti: Komawo ggwe Yisirayeli, eyaseeseetuka n'onvaako. Sijja kubatunuuliza busungu, kubanga ndi musaasizi. Siribasunguwalira mirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiika obwa kkono, oyogere nti Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka, bw'ayogera Mukama; siibatunuulire n'obusungu: kubanga nnina okusaasira, bw'ayogera Mukama, siriguguba na busungu emirembe gyonna.