Jeremiah 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka kkiriza ekyonoono kyo: Wajeemera Omukama Katonda wo, wamala geeyisa otyo mu bagwira, wansi wa buli muti oguggumizza, n'otogondera ddoboozi lyange,’ Omukama y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera,’ ” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza okwagala kwo eri abagenyi, wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kkiriza bukkiriza omusango gwo, nti wajeemera Mukama Katonda wo, ne weegabulira balubaale abagwira wansi wa buli muti omubisi, era kkiriza nti temwagondera biragiro byange. Nze Mukama, Nze njogedde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza amakubo go abagenyi wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange, bw'ayogera Mukama.