Jeremiah 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukomeewo, mmwe abaana abajeemu,” Omukama y'agamba, “kubanga nze mukama wammwe; nzija kubaggyayo, omu mu kibuga, babiri mu kika, mbaleete mu Siyoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukomewo, mmwe abaana abadda emabega,” bw'ayogera Mukama, “kubanga nze bbammwe, era ndibatwala nga nzigya omu mu kibuga n'ababiri mu kika, ne mbaleeta e Sayuuni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, kubanga muli bange. Ndiggya omu ku mmwe mu buli kibuga, n'ababiri mu buli kika, ne mbaleeta ku Lusozi Siyooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Komawo, mmwe abaana abadda ennyuma, bw'ayogera Mukama; kubanga nze bbammwe: era ndibatwala nga nziya omu ku kibuga n'ababiri ku kika, ne mbaleeta e Sayuuni: