Jeremiah 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo,” Omukama y'agamba, “bwe muliba mumaze okwala n'okuzaala ku nsi, tebaliddayo kugamba nti: ‘Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama!’ Baliba tebakyagirowoozaako, yadde okugijjukira, newandibadde okugisaalirwa, era terikolwayo ndala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti, “Essanduuko ey'endagaano ya Mukama,” so teriyingira mu mwoyo gwabwe; nga tebakyagijjukira wadde okugyetaaga; era nate tewaliba ndala erikolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe muliba nga mweyongedde obungi mu nsi eyo, abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko ey'Endagaano. Baliba tebakyagirowoozaako, wadde okugijjukira. Tebaligijulirira era tebalikola ndala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti Essanduuko ey'endagaano ya Mukama; so teriyingira mu mwoyo gwabwe; so tebaligijjukira; so tebaligikyalira; so tebalikola nate bwe batyo.